Abstract
Abstract in Luganda Ebivuga Mazina era n'Amazina Bivuga: Enkwanaganya n'Enjogeraganya mu Baakisimba w'Abaganda Nga bwekiri mu by'obuwangwa bw'ennyimba n'amazina g'abaddugavu ag'ekinnansi, ennyimba, ebivuga, n'amazina mu baakisimba w'Abaganda, bikwanaganya era byogeraganya. Envuga y'engoma ebuulira omuzinyi ekisoko kyalina okuzina, ate era omuzinyi ng'awenya ku kubagoma n'amaaso ge, asobola okulaga abagoma ekisoko kyeyandyagadde okuzina. Mu lupapula luno, nga nkozesa amazina g'abaakisimba ndaga ng'ebivuga, ng'engoma, ensaasi, ngalabi ne nankasa bwe bikwatagana era ne bijjuliriza ebisoko by'amazina ga baakisimba, naddala okubiibya okwo mu Lubiri n'okwomukyalo. Mpunzika nga ngamba nti amazina ga baakisimba bivuga, era n'ebivuga mu baakisimba, nabyo mazina, elw'engeri buli byombiriri bwe bikwanaganya ku siteegi